Bismillah Al-Rehman Al-Raheem

 

Amazima bwe gajja, bwo obulimba busanawo ; bwo obulimba amazima bw’ali bulina kusanawo

Mahdi agenda kubeera wa mu nyumba yange, ng’ava munda ya ba jajja ba fatimah

(Abu Dawood)

 

Ffe : Dr Syed Rashid Ali ne Ahtesham-ul-Hag Abdul Bari

(ono nga yye yaliko omuhamadiyya)

 

nga tuli mu Kibiina ekiyitibwa :

 

Anti Ahmadiyya Movement In Islam

Tutaddewo

Ekirabo Nga Kya Rupiiyya Rs. 500,000

 

Nga kyakuweebwa eri oyo yenna :

 

Omu Qadiyani oba omu Ahmadiyya awakanya ebigambo bino wamanga.

 

Abange mmwe ab’emikwano Aba Qadiyani / Aba Ahmadiyya !

 

. Mukkiriza nti Mirza Ghulam Ahmad Qadiani musajja owa mazima, si bwekiri ?... Ddala ddala ekyo bwekiri.

. Mukkiriza nti Mirza Ghulam Ahmad Qadiani ye Imam Mahdi era nga n’okujjakwe kwalangwa Nabbi Muhammad (S.A.A.W) ? Ddala ddala ekyo bwekiri.

Mukkiriza nti Mirza Ghulam Ahmad Qadiani tayinza kubeera mulimba era eyekuba endobo ? Ddala ddala ekyo bwekiri.

. Nabwemutyo mukkiririza mu biwandiiko ebya Mirza Ghulam bino wamanga, si bwekiri ?

 

Mirza Ghulam yagamba bw’ati :

 

*”Ebiwandiiko eby’omuntu nga wa mazima, omugezigezi era nga mwesimbu tebiyinza kubeera nga bikontana mungeri endala, ddala kikakafu nti singa omuntu yenna abeerako ekikyaamu ku bwongo obubwe oba nga mulalu era nga mu bunanfunsibwe eno abeera nga awanawana ate nga eno bw’amala gakiriza buli kintu ; ebigambo oba ebiwandiiko eby’omuntu oyo tewali kubuusabuusa bibeera biteekwa okukontana”.

 

(Bino byakoppwa okuva mu biwandiiko ebya Mirza A. Qadiani ebiyitibwa :

Sat Bachan, Roohani Khazain Vol. 1P p. 142).

*”Omuntu yenna nga talina kikyaamu kubwongobwe era nga n’amagezi alina tasobola kukiriziganya n’endowooza oba enzikiriza biri nga zona zawukana” (Bino bya koppwa okuva mu biwandiiko ebya Mirza Ghulam A. Qadiani : Izala-e-Auham, Roohani Khazain vol. 3 p. 220.

*”Ebiwandiiko oba ebigambo eby’omulimba biteekwa buteekwa okubeeramu ebikontana (Bya koppwa okuva mu kitabo : Zamina Braheen Ahmadiyya part 5 Roohani Khazain vol. 21 p. 275.

Abange mmwe abemikwaano Aba Qadiani / Aba Ahmadiyya !

Mu mazima mmwe mukakasa era mukkiririza mu bigambo ebya  Mirza Ghulam A. Qadiani ebyo waggulu. Nabwekityo naffe wano tubawa omukisa nate okukakasa n’okwolesa eri ensi yonna : kigero ki eky’obukkiriza kyemulina mu Mirza Ghulam Ahmad Qadiani era n’okukakasa oba ddala ekubo lye mwakwata nga lyelyo egolokofu oba nedda si kulwa nga babayiringisiza mu kigaali ne babalimba limba ekubo egolokofu ne balibayisaako ? Musabibwa musome ebigambo bino ebya Mirza Sahib wamanga n’obwegendereza : mubisome okuva kunjuyi zonna – waggulu ne wansi, kuddyo ne kukkono era nga mukakasa nti tewali kigambo nakimu kye mubuusiza amaaso ne mutakitegeera.

 

MUBIWANDIIKO BYE EBIMU YAGAMBA BW’ATI

“Ensonga kye Iyaava elinya “Mahadi” liletebwa enga bwe lya tunyumizibwa eri bw’eti : Tagenda kubeera ng’asomesebwa bayivu wabula wa kubeera n’alungamizibwa Katonda. Mungeri y’emu nga Katonda bwe yalugamya nabbi we Muhammad (S.A.A.W.).

oyo eyafuna okulungamizibwa n’okumanya ng’abijja ku Katonda yekka”.

(Bino byakoppwa okuva mu Kitabo ekya Mirza : Najm-ul-Hudda, Roohani Khazain vol. 14 p. 90).

 

Nabwekityo, omuntu agenda okujja yatuumwa Mahdi ; era kano nekabeera nga ke kabonero akalaga nti omuntu agenda okujja talibeera muyizi wa musomesa yenna owa Qur’aan oba Hadith wabula wa Kufuna okuyigirizibwa okwe ddiini nga akujja ku Katonda. Era bwentyo nange NDAYIRA MU LINYA LYA KATONDA nti eno yembeera yange yenyini ! Tewali ayinza okuleeta obujulizi obunumiriza nti nali nsomeseddwaako mu fassir (omuvvunuzi owa Qur’aan) oba omu Haddith (omukenkufu owa Hadith) ale kabeele esuula emu bw’eti. Nabwekityo buno obwa Mahdi bwe ntuuseko buli ddala mu musingi gwe gumu n’obwa nabbi obwa Muhammad”

(Bikoppedwa okuva mu kitabo ekya Mirza Ghulam Ahmad Qadiani : Ayam-us-Sulh Roohan Khazain vol. 14 p. 394).

BWEYAMALA OKWOGERA EBYO ATE N’AGAMBA BW’ATI :

“Okuva mu buto bwange, okuyigirizibwa kwange kwali bwe kuti : Bwenaweza wakati w’emyaka 6-7 egy’obukuu, bandetera omusomesa omu Farsi ansomese Qur’aan entukuvu era awamu n’ebitabo eby’olulimi olu farsi era ng’omusomesa ono elinya lye yayitibwanga Fazal Ilahi. Ate bwe naweza awo emyaka nga kumi (10) egy’obukulu, bandetera omusomes ow’oruwarabu ansomese, elinyalye yali ayitibwa Fazal Ahmad---- Ate bwenaweza wakati we myaka 16-18 egy’obukulu nafuna omukisa ogw’okusomesebwa omu Molvi Sahbi, elinya lye yali ayitibwa Gul Ali Sha”.

(Bino bikooppeddwa okuva mu kitabo ekya Mirza Ghulam : Kitab ul Bariyah, Roohani Khazain vol. 13 pp. 180-181.

“Siyinza kweyita nti nze Mahdi nga nsinzira (ku bigambo bino ebya Hadith) “NG’AVA MU MUTABANI WA FATIMA ERA OWO MULULYO LWANGE” nebirala”.

(Bino byakoppwa mu kitabo ekya Mirza Ghulam : Braheen-e-Ahmadiyya V., Roohani Khazain vol. 21 p. 356.

“Ffe tukikkiriza anti ba Mahdi abawerako bandiba nga bajja dda oluberyeberye era kyandiyinzika okubeera nga ne mu biseera ebijja nabyo bagenda okujja era kya ndisoboka okubeera nga omuntu omu nga tayitibwa Imam Muhammad naye bw’atyo yandilabikako”

(Bino byakoppwa okuva mu kitabo ekya Mirza Ghulam : Rohani Khazain vol. 3 p. 379).

Abange mmwe ab’emikwano aba Qadiyani / Aba Ahmadiyya !! Ddala ebigambo ebyo tebimala bumazi okukakasa n’okulaga obulimba awamu n’okukontana ebya Mirza Ghulam ? Ddala kisoboka omulimba okubeera nga ye IMAM MAHDI (A.S.) ? Ddala okyayinza okubeera ng’era nate okyagugubidde ku kya Mirza Ghulam Qadiani Sahib nti ye IMAMA MAHDI ?

Ku lw’ekibiina ekiyitibwa ANTI AHMADIYYA MOVEMENT IN ISLAM, tutadewo EKIRABO nga kya rupiiyya RS. 500,000/ = nga za buliwo era nga kya kuweebwa oyo yenna anabeera nga yonna ey’amateeka mu nsi yonna nti ebiwandiiko n’ebigambo ebyo byetusomye wagulu byonna bikyaamu ate bya bulimba era nti n’olwekyo Mirza Ghulam Ahmad Qadiani ye IMAM MAHDI.

Wa maa alainaa ill-alBalaagh

Wassalamun’ala mun ittaba alhuda

 

Dr Syed Rashid Ali

Ahtesham-ul-Haq Abdul Bari

Dated 29th Rabi-ul-Awwal 142/June 2000

 

 

ANTI AHMADIYYA MOVEMENT IN ISLAM

DR SYED RASHID ALI, P.O. BOX 11560 Dibba

Al-Fujairah, United Arab Emirates.

rasyed@emirates.net.ae

http://alhafeez.org/rashid/

 

 

AHTESHAM-UL-HAQ ABDUL BARI Bhola seth ki Chawl, Gala

Ho. 15.210 maulana Azad Road, cross lane, Madanpura,

Mumbai 400 008, India    aqmmumbai@hotmail.com